ITAD
ITS ALL ABOUT DAWAH AND DEVELOPMENT
09/05/2023
23/03/2023
Omubaka wa Allah ﷺ yagamba: "Ebintu bisatu bya mu mpisa za bwa Nabbi:
- Okwanguyiriza okusibulukuka.
- Okukeereya okulya ddaaku.
- Okuteeka omukono ogwa ddyo ku gwa kkono mu sswala ".
22/03/2023
RAMADHAN KAREEM
DEAR BROTHERS AND SISTERS
A DUA UOPN BREAKING FASTING (FIRST ONE) a dua upon breaking fasting is brought to you by THE ISLAMIC MESSAGE (TIM)
09/02/2023
Omubaka wa Allah ﷺ yagamba: "Omulimo ogusinga obulungi mu mirimo; kwe kuyingiza essanyu (mu kifuba) kya muganda wo omusiraamu, oba n'omusasulira ebbanja (erimubanjibwa), oba n'omuliisa omugaati (amakulu emmere)".
Ani afaayo eri omulimo ogwo basiraamu?
08/02/2023
Allah ow'ekitiibwa yagamba: (Ndayira omwoyo ogwejjusa - ogwenenya -). Surat Al-Qiyaama aya 2.
Hassan Al-Baswari yagamba: "Mazima omukkiriza wallahi buli kaseera yejjusa nga anenya omwoyo gwe. Ekigambo kye njogedde lwaki nkyogedde.. kiki kye mbadde nngenderera? .. ebyo bye nnyumizza n'omwoyo gwange lwaki mbinyumizza nga ate bibi, nngenderedde ki?. Naye ate omwonoonefu agenda bugenzi mu maaso tanenya mwoyo gwe teyejjusa.
Bw'owulira okwejjusa nga okoze ekinyiiza Allah, manya wandiba mu bakkiriza.
07/02/2023
Omubaka wa Allah ﷺ yagamba: "Owange Aba Zharri! Gwe olaba nti obungi bwe mmaali bwe bugagga? (Ssi bwekiri) mazima obugagga bwe bugagga bw'omutima, n'obwaavu bwe bwaavu bw'omutima. Oyo yenna nga obugagga bumuli mu mutima takosebwa ebyo by'asisinkana mu nsi, n'oyo nga obwavu bumuli mu mutima, tebiyinza kumugasa byonna by'afuna mu nsi (ne bwe biba bingi bitya), wabula akosebwa omululu (n'omulugube) gwe (gwalina)".
Click here to claim your Sponsored Listing.
Category
Contact the place of worship
Telephone
Website
Address
Kampala Road
Kampala