Ensi Buganda

Ensi Buganda

Ensi Buganda Tukuleetera ebyafaayo bya Buganda N'ebyo byonna byosaanye okumanya Ku Nsi Buganda

10/08/2023

EMBWA ENKAZI TEZALA,ABAFFE EKIKOLWA KY'EKOLA KIYITIBWA KITYA MU LULIMI OLUGANDA?!.

Ensi Buganda Ensi Buganda Tukuleetera ebyafaayo bya Buganda N'ebyo byonna byosaanye okumanya Ku Nsi Buganda

10/08/2023

EBIKOKYO/ EBIKOCO

●Kkoyikoyi....
1.Gy'ava alabayo ne gy'alaga alabayo-▪olusekese lw'enku

2.Kamu ,bubiri,bunnemye okubala-
▪obugulu bw'eggongolo.

3.Kungulu ggumba munda nnyama-
▪ekkovu ery'essonko.

4.Nkwititi tayita Nkwititi-
▪emmindi tesena mu nsuwa

5.Nnina abakazi basatu omu bw'avaawo ssirya-
▪essiga.

6.Nanti mbisi bamutwalira mu nanti nkalu-▪omwenge mu ndeku.

7.Nnina mukazi wange ayaambala buziina n'anyuma-enkoko.

8.Nnina mukazi wange aluka emikeeka mingi naye atuula ku ttaka-
▪ensujju

9.Sitama nkutikke ebbuutu-
▪eryanda ku mmindi.
10.Waggulu bisagazi wakati ndeku wansi nviiri-akatungulu.

●11.Yimbula embuzi ondekere enkondo-▪ennaanansi.

12.Nsobola okumusika sisobola kumusindika-▪omuguwa.

13.Zungululu zungululu zzu-
▪emigo gy'ekibbo.

14.Kwata empiso nange nkwate empiso tutunge ekyalema abakulu okutunga
▪-olwatika lw'ettaka.

15.Kankujje kuno nkutwale ocoppe
▪-ensowera ku mugugu.

Awangaale Maaso Moogi

05/04/2023

BINO OBADDE OBIMANYI EBYALIWO MU BUGANDA EDDA?
● Edda ennyo Enswa nga zitwaalibwa ku buko neziweebwaayo ng'omutwalo gw'abakadde b'omuwala!
● Enswa zaalibwanga ng'enva.
● Mu kufumbya omugole, Enswa n'obutiko nga tebibula ku bintu omugole by'atwala okufumbira bba.
● Enswa zaasoloozebwanga ng'omusolo. ( Musolo gwa nswa, osolooza bw'olyako)
● Edda baaziwanga abagenyi ng'emmwanyi ne bazinywera ku mwenge oba ku caayi.
● Enkyana ky'enswa kiyitibwa Entakke
● Engazamba y'enswa etaliiko byoya
● Jalabwe ye lubaale w'enswa.
● Eriiso ly'enswa ensejjere liyitibwa Olwataata
● Jjukira tulina ebika by'enswa bino
▪Entunda
▪Empawu
▪Embaala
▪Ennaka
▪Ensejjere
▪Embobya

Ne Kabanda Musoke

30/03/2023

Kabaka Kyabaggu. Yafuga okuva 1750 - 1780. Mutabani w'Omul. Ggolooba. Nnyina ye Nnaluggwa, Owendiga. Yasikira mukulu we, Kabaka Nnamugala. Kyabaggu yali munene, w'amaanyi, wa kiwalaata. Yalabikanga ng'omukulu okusukka ku myaka gye. Ye yasooka okutegeera nti kawumpuli ava ku mmese n'atuma Katikkiro okuzisaanyawo. Ye yasooka okuliira ku ssowaani n'okunywera ku kikopo, ebyekyuma, mu Buganda (oba oli awo ne mu Uganda), okwawukanako ku baamukulembera, abaakozesanga ebibya eby'ebbumba.

30/03/2023

ENFA YA MATYANSI BUTYAMPA

Matyansi yali ava Kkooki
Ne munne Ggolooba Bidandi
Yalina akabwa ke akatono
Akaali kamuvaako emabega.

Yalina Madongo enneneko
Ekulembera mu luguudo
Matyansi okutuuka e Kisoma
Ng'obudde busoose okuziba.

Munne amuvaako emabega
Yalaba Madongo kusooba
Olwayimirira ng'evuuma
Ekubye n'emyansi nsanvu

Yadda kubbali ng'ebwama
Kubanga erabyeyo omuntu
Bwe baba bagenda kusomoka
Ne zireeta omusajja omutemu!

Ggolooba asigadde emabega
Ate ye yagamba Butyampa
"Gy'olaga ndabye ng'ekintu
Kinene kikutte akazigi!"

Yandiba omusajja omusezi
Olaba Madongo evuuma!
Ggwe tambula mpola ng'osooba
Mu ttale mubaamu abatemu!"

Mukwano gwe yayomba buyombi:
"Saagala kutya kwo Bidandi!
Ne bwe tuba tusanze omutemu
Ggwe guma nze wendi otya ki?"

Kazzi bw'amala ebyo Butyampa
Wuuno zimuleese omusezi!
Akutte effumu lya kikomo
Wamu n'ekiso mu nkanga.

Bw'aba tannatuuka Butyampa
N'alya mu ttama ng'agamba:
"Lino lyaziba ggwe olaga wa?
N'obubwa obulinga obukolya?"

Matyansi yagamba bugambi:
"Oba lyaziba ggwe olaga wa?
Yanguwa oddeyo eri emabega
Nviira ne mpita nze ngenda."

N'oli kwe kubuuza amangu,
"Ggwe ani angoba mu luguudo,
N'oli akuvaako emabega?
Oyagala nkuviire olaga wa?"

N'ono kwe kukitta amangu
Olwo ne basooka okuwaya:
"Bampita Matyansi Butyampa.
Ate ono ye Ggolooba Bidandi."

"Kaakati Matyansi ova wa?"
"Nva eyo mu basajja abavubi
Ku nnyanja ewala eyo e kkooki,
Era nagendayo lwa nsonga:

Lupiiya yali ng'etoniwa
Lubuto okulya ng'ayagala
Ng'edduma likoota omumiro
Nadduka nvube ku buyamba.

Nkomewo nkoze ku katooke;
Obulala mpime nga ntunda.
olutala nsibye lwa kitalo,
Era lummenye nnyo emabega."

yali mu bino ng'abinyumya
Nga munne ggolooba emabega
Omutemu amutidde agenda,
Talina gafa ng'atunula!

Matyansi yabuuza omutemu:
"Ekikutambuza ggwe obwomu
Ng'ate bwazibye dda nnyo,
Kaakati kiki ky'onoonya?

Ye nze bwe mmala nkuyita ani?"
Ssempappe naye n'atakisa:
Nti "Kale kiikino ky'obuuza,
Eryanga bampita Ndibasaanya.

Bonna bammanyi bw'onsanga
Ensimbi n'ebibyo ng'olaama
N'abaana abato nze mbamira!
Ggwe tommanyi? Gira ng'onninda!"

Olwo abase ekiso mu nkanga
Nga muli Matyansi atekena!
Naye olw'okuba ow'ekiwago,
n'ageza amusambe okugulu.

N'embwa n'azigamba okujja
Bw'ayita Madongo enkambwe,
oli n'agitunga effumu lye
Eyo yagwa lumu ng'ekanuka!

Bw'ayita akabwa ke akatono
Oli yakasamba busambi
konna n'akatugga obugulu
Lumbe lwa musajja omutemu!

Kino kyamuleeta buswandi!
Yajja gaawanye ng'atokota
N'atema Matyansi Butyampa
Ng'atema kasadde ensaata!

Yalaba Matyansi abisiba,
N'amala okubuuza ebintu:
"Ssente zo Matyansi ziri wa?
Ggwe yanguya bala nze ngenda.

oyagala nkuyonke essaayi?"
Matyansi kwe kutya ng'alaama:
"Mazima siringi sirina!
Kkiriza nkuwe ku buyamba."

Kattira yayomba buyombi:
"Simanyi Matyansi ozannya?
Nze ndaba ogufudde muzannyo!
Njagala okole bwe ndagira!
Nga nno bwe musanze omuzira,
Leero kalikuggwe ejjoogo!

Weebali? Amuwadde akambe!
N'atema! Amuwuzze akalala!
Matyansi bw'akuba ku nduulu,
Yabulwa amutaasa omutemu!

Baabuwe yakanda kulaama
Nti: Ndeka!Yagaana omulogo!
Nga muli amukutte amutuga,
Bw'atyo n'amusenga obunyama!

Yasalanga akuba mu nkanga!
Ebyenda yaleka mu kisaalu,
Omutwe n'agusussa ekibira.
Yakoza ttima na bukambwe!

Ne Kabanda Musoke

Ensi Buganda Ensi Buganda Tukuleetera ebyafaayo bya Buganda N'ebyo byonna byosaanye okumanya Ku Nsi Buganda

15/02/2023

*Endogoyi ne Wakayima*

Edda ennyo, ensolo emanyiddwa nga Endogoyi yava eyo mu nsi ye Bulungaana n'egenda asenga mu nsi endala nga ekooye okubeera okumpi nab'engaanda zaayo abaalemwa okukola ebyabwe ne baddanga mukusaba yo.

Wandogoyi nga atuuse mu nsi endala yafuna omukwano ne Wakayima kuba yamuyamba nnyo okukkalira ku kyalo kweyali asenze. Wandogoyi ne Wakayima🐰 omukwano gwabwe gwanywerera ddala era nga buli nsonga bawuliziganya ne bawangana n'amagezi.

Eby'embi mu budde obwo ensi yagwaamu ekyeya eby'okulya ne bifuuka ak'okulya, amazzi ne gafuuka otuzzi. Ate munange, ensi bwegwamu ekyeeya n'essente zifuuka akasente.

Eky'ennaku ate era mu kiseera ekyo ky'ekimu Mukyala wa Wakayima weyalwalira obulwadde obw'amaanyi. Wakayima yasitula omulwadde n'amukuba ew'omuganga okutaasa obulamu bwe.
Wakayima ensimbi zatuuka n'okumugwako nga zonna azivujjiridde omuganga.

Ensimbi nga zimwekubya mpi, Wakayima yeekuba ku musajja munne Wandogoyi amuwoole, omutwalo gw'ensimbi ataase obulamu bwa Mukyalawe.

Wandogoyi yalumiriza Wakayima nti,"Munange baajaajja baalugera nti ekitta omukwano kuwola na kwazika, naye siyinza kukuleka mu buziibu, okuumanga obwesige, n'otandyazamanya".

Wakayima yalayira nga bwagenda okutukiriza era ensimbi Wandogoyi nazimuwa nga talina kyamusingidde mu nkola ya bwa Sseruganda.

Mukama mulungi, kuba Mukyala Wakayima ekimbe yakiwona naye nga ye Wakayima yasigala yeyaguza luggyo. Nga wayise ekiseera Wandogoyi yajjukiza Wakayima okumusasula naye nga buli mulundi Wakayima amusaba ayongere okumugumikiriza.

Wandogoyi yatambula enkya ne ggulo n'obwooya ne butuuka okumuggwa ku magulu. Nga bwajja ku mankya nga Wakayima amugamba nti,

"Sseruganda lwaki okeera okumanja n'onkuba ebisiraani, olwo nakusasula ntya ng'emikisa ogisse?"

Omulundi ogwaddako Wandogooyi yajja mu ttuntu, Wakayima n'amukaayukira nnyo nti,

"Sseruganda, lwaki ogera mu ttuntu n'olyoka ojja okumanja mu musana omungi bweguti, nze munange bwenjokebwako omusana zigwamu akategeera".

Ate nga wayise ennaku Wandogoyi yajja okubanja nga enkuba effuyirira, Wakayima ku luno n'okuboggola yaboggola nti,

"Sseruganda naawe beeramu ak'obuntu, mazima oyinza otya okubanja munno ng'enkuba ettonya?"

Omulundi omulala Wandogoyi yagera nga buwungeera najja okubanja, naye Wakayima teyamulinda nakutuula namwambalira nti,

"Sseruganda siganye omanja era nja kusasula naye mu butuufu oyinza otya okubanja munno obudde nga buwungeera, kumpi buno obudde buzibye, lwaki tolindako,olowooza obudde tebuukye?"

Omulundi guno Wandogoyi yanyigira nnyo Wakayima era namugamba nti kale enkya yali wakujja nga bukyali misana era nalayira nti ku luno yalina okusasulwa ssente ze.

Bwe yali afuluma Wandogoyi yagamba Wakayima nti we byali bituuse yali wakubowa ku by'obugagga bya Wakayima yeesasule.

Ekiro ekyo Wakayima yayiiya amagezi era bwe bwakeera n'alagira Mukaziwe omuzinge mukirago asseko emmuli yetolooze bulungi n'emmuli, amusibe ng'olusekese asse awo mu luggya.

Muka Wakayima yakola nga bba bweyamulagira era kumpi yali yakamaliriza bwati ne Wandogoyi nga ali wamu ne batabani be babiri ne batuuka.

Wandogoyi yabuuza Mukyala wa Wakayima, omwami gyeyali alaze era omukyala Bba gweyali abulidde eby'okwogera n'amugamba nga bwasonga ku lusekese nti,yali agenze kunoonya ab'okumusitulirako ku Mantambutambu ga Kabaka geyali atwala mu lubiri ng'amakula.

Wandogoyi mu busungu kwe kugamba batabaani be basitule olusekese balutwale okutuusa Wakayima lwanamusasula.

Wandogoyi yewaana nti, " ekirungi bino bintu bya Beene, Wakayima aleete mangu ensimbi zange ndyoke mbimuddize".

Wandogoyi bweyatuuka ewuuwe n'alagira batabaani be olusekese balusimbe emanju ku mutuba.

Wakayima eyali munda mu lusekese yalaba bamulesse manju ne yesumulula nasitulawo ne byeyali asibiddwamu n'adduka.

Akaseera nga kayiisewo Wandogoyi yalengera Wakayima nga ajja adduka nga bwasangula entuuyo n'omukono ogumu nga mumukono omulala akutte ensawo.

Wakayima ne munju teyayingira, wabula yafukamira ku ttaka nagamba Wandogoyi nti, "Munange kiki kino ky'okoze wadde mweno ensi wasengamu bukulu naye ekiseera ky'omaze kuno obuwangwa bwaffe ne nnono wandibadde obiyize toyinza kuwamba bintu bya Mutanda. Yayongerako nti;

"Ensimbi zo ziizino nzireese, kwegayiridde mpa amantambutambu ga Kabaka ngatwale nga tanabiwulira".

Wandogoyi yaseka ne yewaana amagezi nti era taba kusitukira mu bintu bya mbuga Wakayima abadde si wakusasula.

Naye Wandogoyi kata agwewo ekigwo bweyetoolola emanju weyatadde olusekese nga teluliiwo. Wakayima yaggwa wansi neyevulungula mu ttaka nga bwalumiriza munne nti,

"Wandogoyi onzise nkole ntya nze, Ssabasajja anawulira atya nti amantambutambu ge gabuze, nti omusajja omulungaana yagattute, nfudde nze"

Wandogoyi yanoonya wonna olusekese ne lumubula. Yeegayirira Wakayima atwalemu ensimbi zeyali azze okusasula naye ebigambo bikome awo Kabaka aleeme okubiwulira, Wakayima ne yeerema.

Wandogoyi yegayirira Wakayima amubuulire amantambutambu kyegategeeza agende agagule agazeewo nga Wakayima ayogera kimu nti, Amantambutambu era ge Mantambutambu.

Abantiu bakungaana ne bawerera ddala ekyali kikutte ku "makula ga Nnyinimu" nga tebiyinza kuleka muntu waka.

Embeera ng'erinnye enkandago, omwami wa Kabaka atwala ekyalo yayitibwa kyokka naye mu butuufu nga tamanyi Matambutambu kyekitegeeza naye mukutya okuswala yakungiriza bukungirizi nti "kino kitalo, amatambutambu g'embuga okubula".

Ekibi kikira engooma okulawa ebigambo byabubbuuka ng'oluyiira ne bituuka ku Kabaka. Kabaka yatumya Wandogoyi ne Wakayima era bwebatuuka Wakayima n'alumiriza nnyo nti,

"Ssebo Nyinimu amatambutambu gembadde nkuleetera naawe wenyini togalabangako kuba nagajja eyo mu nsi eyewala era ne ku mulembe gwa Jjaajawo bweyali ng'alamula jjaajange yamuleetera amatambutambu.

Wakayima yayongerako nti,

"Mukama wange ne kitaawo Ssekabaka eyabula, kitange yamuleetera Amatambutambu mu ngeri yemu, kale nze nange kinkakatako era kyannono okukuwa Amantambutambu era gunsinze nnyo, nakumye bubi Mukama wange."

Kabaka naye olwawulira bino n'atabuka, Wandogoyi ne batabaani be ebigambo byali bibaweddeko.

Kabaka yayita abawi bamagezi basalewo eky'okukolera Wandogoyi ne Batabaani be. Omusango gwamala ennaku mwenda nga guwozesebwa era Wandogoyi ne gumusinga anti yabulwa wadde omuntu omu bwati okumuwolerezako.

Buli yabiwuliranga ng'agamba kimu nti wadde Wandogoyi yabadde abanja naye bwebalimugambye nti ebintu bya Kabaka teyandibikutteko, kuba Kabaka munyango, Nnantamanyirwa.

Kabaka mu bukambwe obw'ekitalo yawa abawawabirwa ekibonerezo.

" Wandogoyi amusango gwewaza gwannagomola era owereddwa ekibonerezo ggwe, abaana bo ab'obuwala n'obulenzi, bazzukulu bo ne bazzukulu ba bazzukulu bazukulu bo.....muggya kukozesebwanga emirimu egy'amaanyi obulamu bwamwe bwonna nga temusasulwa era toliddamu kuba n'amaka agago okuva leero ojja kuberanga mu maka gabalala nga eky'obugagga kyaabwe "

Wakayima olwawulira bino nagwa mu maaso ga Kabaka ne yeyanza nnyo era nakwata ekisawo kye omwali ensimbi n'adda awuwe mu ssanyu.

Nze webyatuuka wano kwekusalawo nve mu Nsi eyo nzire okwaffe, kuba namanya nti kiziibu nnyo omugwira okuwangula omusango mu Nsi mwotazalwa.

Naleka Bawandogoyi batandise ekibonerezo kyabwe nendaganya okuddayo mu nsi eyo nga wayise akaseera ndabe oba ddala Wakayima ebintu bikyamugendera bulungi songa ddala yalimba bulimbi, munne yamuwayiriza buwayirizi....era lujja kuba lumu mbanyumize ebyaddirira.

Nange awo wennalabira.

09/02/2023

OLUGERO

BY KABANDA MUSOKE

Ensi Buganda Ensi Buganda Tukuleetera ebyafaayo bya Buganda N'ebyo byonna byosaanye okumanya Ku Nsi Buganda

Want your establishment to be the top-listed Arts & Entertainment in Kampala?
Click here to claim your Sponsored Listing.

Category

Telephone

Website

Address

Kampala
256