Yahu Blog 256
For, economics, social, political and daily life stories updates and ideas. Inspirational videos etc
Naye akasajja ka Lil Pazo olemwa. Kalina ensonga lwakuba koogera kasaagirira.
Lord Mayor Engineer Balimwezo azzeemu okukikkaatiriza: abavubuka mujje mu office yange nga muli bayonjo. Teri agenda kukuwa mulimu ng'oli mukyafu!
Vidoe credit-Bizonto Comedy.
Kazibwe Kapo tayagala kufa ate ne balwawo okumuziika mbu balinda abali ewala. Anenyezza ne ba bloggers (naddala ba Youtubers) okulaga ebifananyi by'abafu.
Emboozi ya Shalom256.
Naye mwe, kiki ekigenda mu maaso mu ggwanga 🙌🙌🙌. Lili Pazo wuuno ne love y'omuserikale wa police. 😂 😂 🤣
Note:
Akafananyi ako ak'omuserikale mu video si kange era sikalinaako buvunaanyuzibwa!
Ba bulooka b'amataka bona badukira
mu kwesimbawo ku bwa chairman bwa LC1. Y'ensonga lwaki akalulu ako kalimu ssente nyingi okusinga bwe gwaali gubadde- Mzee Magala.
Emboozi y'abalogo b'enkuba mu mivvulu by'abayimbi. 😂 King Michael.
Video Credit - Shalom256.
Spice Diana-Natwaala akabanga akawera nga nyimba naye eno bwe nsoma naye ng'abaana be nsoma nabo tebammanyi nti yenze!
Video Credit- Shalom256
Who's your next Kampala Member of parliament?
Kano Kakulu Nnyo
16/03/2025
ALEX LUSWA LUWEMBA/MUHAMMAD.
Omuganda agamba nti; Olidde jji kwesubya muwula! Olugero luno lwakutuukiddeko bulungi oluvanyuma lw'ekibiinakyo ekya National Unity Platform okukola okusalawo okwayawukana ku ndowooza yo, bw'otyo n'owabisibwa ne wewagula n'okola ebibyo!
Bulijjo, amaanyi ameemanye, gamala ebita embuga. Kaliba kasajja, akuliisa engo. Okwewaggula newesimbawo obwa namunigina, kaali kabonero akooleka;
-Nti gwe olowooza nti oli Wa kitalo nnyo.
-Nti gwe oli munene okusinga ekibiina.
-Nti wayinza okubeerawo akuli emabega.
-Nti gwe mu NUP wanonamu bifo si kununula gwanga nga bano abalala.
Tekyali kirowoozo kirungi kwewaggula. Ebirootobyo wabitta mu kaseera mpa we kaaga! Kigenda kukubeerera kizibu okwesimba awantu wona abantu nebakwesiga nebakulonda. Olaba onyooma kibiinakyo ku nsonga entono, ate olwo ku balonzi!
Wetegereze kino;
Okubeera nga Wali muyambi Wa Ssegirinya, tekiyina kakwate Kona kukufuula ye. Abantu baali tebabagaala kyenkanyi. Obuwagizi bwa Ssegirinya bwaali bubwe, so si bubwo Oba 'bwamwe'. Y'ensonga lwaki olumu olaba ne president w'ekibiina Bobi Wine anoonyeza abantu obululu ate abalonzi nebamuwakanya nebalonda mulala.
Alex, tewaliiwo ngeri yona gye Wali oyinza kusinza bantu abo maanyi... Opozisoni yona, nedda nawe!
Wabula walina okukola bino wamanga;
-Kukkiririza mu kusalawo okwa wamu nti ye yalı aweereddwa kanadı, olwo newegatta ku bantu bona n'omudda emabega ne munoonya akalulu!
-Nga eyali mukamaawo omugenzi Ssegirinya Muhammad FANS PAGE bwe yakola, nawe wandisoose kwesimbawo ku bwa kansala Oba meeya (kubanga Wali toweereddwa kaadi ku bwa MP) olwo ensi n'esooka eraba enkolayo.
Okukkiririza mu byaava mu kusalawo kyaali kigenda kukuweesa obubonero bw'otalabanga. Wabula ng'omuganda bw'agamba nti ataafune asuubula magi na nsuwa, nawe bw'otyo bwe wapapa...
Kiki ky'olina okukola!
-Okuddamu okugula emitima gy'abantu nga obeera mwetowaze eri ekibiina kyo. Kino Wabula kugenda kukutwaalira akaseera akawerako sseruganda. Oyina okubeera omugumiikiriza kubanga nkakasa nti ne mu kalulu akaddako oyinza obutaweebwa kaadi ate nga ffena tukakasa nti olabika toyina bugumiikiriza ate olabika olina akuli emabega.
-Osooke olindike Okwesimba awantu wona mpaka 2031. Wabula ekibuuzo kiri nti onoosobola okulinda?
-Bwekiba kituufu oyina omuntu akuli emabega, genda omwegateko akuwe omulimu. Naye ekizibu kiri nti ye anakwesiga nga naye akusigudde busiguzi?
Eby'obufuzi bya kubala, Mukisa oluusi n'ani akuwagira. Kw'ebyo tewaaliwo kye Wali mulungi mu kyo.
Singa wawagira Nalukoola, singa ogenda kubeera muyambiwe osanga, Laba bye wakola.
Kirowozeeko muganda wange, Jukira National Unity Platform tekugobangako era nkakasa nga bw'ononaaba olweza bulungi n'ebbombo n'otukula, era n'omatiza abakulu mu bikolwa si mu bigambo, okyasobolera ddala okusituka. Kiriza mu mutimagwo ensobi era ogyigolole olwo ojja kwambala engule ekunyumire mu Uganda empa.🤝
Click here to claim your Sponsored Listing.
Category
Website
Address
34000
Opening Hours
| Monday | 09:00 - 20:00 |
| Tuesday | 09:00 - 20:00 |
| Wednesday | 09:00 - 20:00 |
| Thursday | 09:00 - 20:00 |
| Friday | 09:00 - 17:00 |
| Saturday | 09:00 - 17:00 |
| Sunday | 09:00 - 17:00 |